AISHA
Bufallo member
    
Offline
Posts: 53
|
 |
« on: » |
|
Mukama Katonda tulina okumwebaza ennyo olw’okuwa bajjajjaffe amagezi ag’ekika ekyawaggulu nebasobola okutukolera Enkuluze (Dictionary) mu lulimi lwaffe oluzaaliranwa. Waliwo amawanga mangi agatalina mannya ga biseera mu nnimi zaabwe enzaliranwa, ate Abaganda abamu nabo tebaafuna kakisa okumanya amannya g’ebiseera nga bwe biyitibwa mu Luganda. Kati nno y’emboozi eri mu ddiiro. Year – Omwaka, kino kigambo kya Luswayiri naye mu Luganda olwaffe lwennyini omwaka tuguyita – Ddaaza Month – Mwezi, kino kigambo kya Luswayiri naye mu Luganda olwaffe lwennyini omwezi tuguyita – Zzooba Week – Ssabbiiti/wiiki, bino bigambo bigwira, mu Luganda olutuufu ennaku omusaanvu tuziyita – Ddimaansi Date – Ennaku z’omwezi, bino nabyo bigambo bigwira, mu Luganda tugamba nti – Enzingu e.g. 11th Nov – ng’enzingu kkumi nalumu mu zzooba erya Museenene 1. January – Gatonnya Mu biro eby’edda ezzooba lino lyabanga lya kyengera, era ng’amatooke geengerera nnyo mu nsuku. Abaganda baagambanga nti: Owange, amatooke mayitirivu obungi, gano gatonnya butonnyi!
2. February – Mukutulansanja
Mu kiseera kino mu Buganda, ng’essaanja liggwera ddala mu nsuku, anti olw’omusana ogwayakanga okwekutula okuviira ddala mu Ntenvu (December) okumalako Gatonnya! Abaganda kyebaavanga boogera nti, guno omusana Mukutulansanja! 3. March – Mugulansigo Mu kiseera kino, Abaganda mwe baateekerateekeranga ennimiro n’okunoonya ensigo ez’okusiga ng’eddaaza likkiridde. Bajjajjaffe nebasalawo ekiseera kino okukituuma Mugulansigo. 4. April – Kafumulampawu Mu kiseera kino enswa Empawu mwezibuukira nezefuumuula okukamala. Era ekiseera kino kye kiva kiyitibwa ekya Kafumulampawu! 5. May – Muzigo Mu kiseera kino enkuba etonnya nnyo (Enkuba eya Ttoggo) kale ebirime nebigingimuka nnyo era nebibala emmere nebikatagga. Ate ebisolo ebizaalibwa mu kiseera kino, naddala enkoko, tebitera kukula olw’obutiti obuyitirivu. Kale bajjajjaffe nebasalawo ekiseera kino okukiyita ekya Muzigo. 6. June – Ssebo Aseka Ekiseera kino kyabanga kya kyengera ekya kasooli era nga bwe mumanyi, ensiri zaagala nnyo ebimera ebikutte ekifuko. Kale ensiri zaabanga nnyinnyi nnyo era nekireetera abantu okulwala omusujja (Malaria) kyokka ng’endwadde eno tebagimanyi. Olw’okwagala okufuna ku kabugumu, Ssebo (musajjamukulu ssemaka) yafulumyanga ku katebe ke akolugalaamiriro oba akaliba ke, n’agalamirako mu luggya mu kasana asobole okufuna ku kabugumu. Mukazi we yayokyanga kasooli era nga kasooli ayidde, yatumanga omwana nti: Twalira kitaawo kasooli ono alyeko. Omwana naye teyabanga mubi, ng’akikola. Mukaziwattu bwe yageranga ekiseera era ng’ategeka bulungi omusooli omulala ng’addamu okutuma omwana. Omwana bweyatuukanga ku kitaawe, yasaanganga kasooli gweyasoose okuleeta ng’akyali awo; ssi mukwateko ate nga taata amannyo gali kungulu! Anti bambi nga musajjamukulu yasomose dda, lututte ffenna abaatusooka gye baalaga. Mu butamanya, omwana yayitanga kitaawe nti: Taata, taata, nkuletedde kasooli omulala wuuno olyeko. Kyokka oli nga teri kanyego. Omwana yalowoozanga nti taata ali mu kumusekerera era kyeyavanga akomawo ewa nnyina n’amugamba nti: Ssebo aseka busesi! Nkanda kumuyita naye ye ansekerera busekerezi! Awo nno bajjajjaffe ekiseera ekyo nebasalawo okukiyita – Ssebo Aseka! 7. July – Kasambula Mu kiseera kino omusana gwaka kitonotono, kale abantu ab’edda beeyambisanga ekiseera kino okusikambula mu nnimiro ebisoolisooli ebikaze n’okulima omuddo okuguggya mu bisaambu byabwe. Wano bajjajja kyebaava batuuma ekiseera kino – Kasambula. 8. August – Muwakanya Mu kiseera kino mubaamu enkuba etonnyerera ate ng’erimu okubwatuka kwa Laddu (lightening). Abaganda ab’edda kino bakivvuunulanga nti enkuba eno eraanga okujja kw’eddaaza essajja (Male Year) eriyitibwa Ddumbi era erirwanyisa eddaaza ekkazi (Female Year) eriyitibwa Ttoggo. Kale bajjajja ekiseera kino nebakituuma ekya Muwakanya nga bagamba nti: Ddumbi awakanya Ttoggo. 9. September – Mutunda Mu kiseera kino enswa eziyitibwa Entunda mwezibuukira, kko bajjajjaffe nti: owange, kino ekiseera kya Mutunda! 10. October – Mukulukusa Bitungotungo Bajjajja bwebaalinga bakungula entuungo (ennyaga), emu yayiikanga mu nnimiro. Kale oluvannyuma lw’enkuba eya Muwakanya, entuungo eno yamerukanga. Naye mu kiseera kino, enkuba yeeyoongeranga obungi era okukkakkana ng’ekulukusizza entuungo eno ento eyabanga emeruse. Kko bajjajjaffe nti: Eno enkuba Mukulukusa Bitungotungo! 11. November – Museenene Wano edda nga ky’ekiseera enkuba ey’olutentezi mweyatonnyeranga ate nga n’enseenene kawoomera mwezibuukira(bazzukulu ba Kalibbala munansonyiwa). Kale bajjajja ekiseera kino nebakituuma ekya Museenene. 12. December – Ntenvu Mu kiseera kino ku ttale ebaayo ebiwuka ebiyitibwa entevu nga bingi ddala era bajjajja kwekutuuma ekiseera kino nti kya Ntenvu. 06:00 a.m. Lubungubungu oba Maliiri Wano Omuganda ow’edda weyateranga okukkirira mu nnimiro n’atandika okukakkalabya ogwa kidima (enkumbi). 09:00 a.m. Emmindi esooka Wano Abaganda webaawummuliranga okuva ku lubimbi ne balyoka bakoleeza emmindi zaabwe nebafuuwako. (Si kuloga, wabula kuwummulako) 10:00 a.m. Kalasa mayanzi Wano omusana gwabanga gutandise okuwoomereza era nga amayanzi gabuuka gava wano gadda wali. Omuzungu bwe yaleeta Chai wano Omuganda we yanyweranga chai. 11:00 a.m. Emmindi eyokubiri Wano abakazi Abaganda webaatandikiranga okuwaata emmere n’okufumba eky’emisana, era n’okukoleeza emmindi baddemu banyweko. 12:00 p.m. Ttuntu Omuganda ekiseera kino yakitwalanga ng’amasekkati g’emisana era ng’omusana gwaka okwememula. 1.00 p.m. Malya g’ekyemisana Wano Omuganda weyaliiranga eky’emisana. 2:00 – 3:00 p.m. Ggandaalo Wano Omuganda weyawummulirangako emmere emukke mu ntumbwe. Ekigendererwa ekirala kyabanga kwewala kutambula mu musana ogwa ebisolo ebikambwe n’emisota webisiingira okuba n’obukambwe obusukkiridde. 4:00 p.m. Akalabirizabazaana Wano omukazi Omuganda weyatandikiranga okutegeka ekyeggulo* 6:00 – 7:00 p.m Enjuba weegoloobera (sunset) Wano Omuganda weyaliiranga ekyeggulo*. 7:00 – 9:00 p.m Wano abakulu baakumanga ekyoto nebanyumya ebyafaayo n’engero ez’abedda. 9:00 – 10:00 p.m. Kawooza masiga Edda amasiga gaaberanga ga mbaalebaale oba njaziyazi, kale nga galwawo okuwola. Ekkiseera kino kyabalibwanga nga amasiga wegawolera. 11:00 p.m. Ekisisimuko ekisooka Wano Omuganda eyabanga yeebase oluvannyuma lw’emboozi y’ekyoto, weyasisimukiranga yeetegereze ebifa ebweru, ssi kulwa ng’ekyalo kizindiddwa. 00:00 a.m (Midnight) Ttumbi Ekiseera kino kyabalibwanga ng’amasekkati g’ekiro. 1:00 a.m. Mattansejjere Ekiseera kino enswa ensejjere mwezibuukira, era Omuganda anatta ensejjere emisana yalinga yategese omumuli gwe ogw’okumulisa ensejjere nga zigwa mu nvubo. 3.00 a.m Kinywambogo Wano embogo wezitandikira olunaku lwazo nga zitandika n’okunywa amazzi mu myala oba emigga. 4:00 a.m. Enkoko embereberye Wano empanga wezisookera okukookolima, n’oluvannyuma neziddamu ku ssaawa ekkumi nebbiri (6:00 a.m.). Era wano wewaava n’okuyimba oluyimba nti: Mukasa akeera, akeera ku nkoko Mukasa akeera, akeera ku nkoko embereberye. 5:00 a.m. Mmaambya (dawn) Enkoko eyokubiri Wano emmsambya eba esaze (nga ku ggulu kuzzeeko ekitangaala ekimyufu). 5:30 a.m. Matulutulu Ku ggulu kuba kuzzeeko ekitangaala ekya kyenvu era obunyonyi butandika okukaaba oba okuyimba. 6:00 a.m. Maliiri oba Lubungubungu *Ekyeggulo – (supper) kino ky’ekigambo eky’Oluganda ekituufu okukozesa bw’oba otegeeza okulya emmere ey’akawuungeezi. Waliwo Abaganda abakozesa mu bukyamu ekigambo Ekyekiro nga baagala okutegeeza “Supper” oba emmere eriibwa akawuungeezi. Ekyo ekigambo kikyamu mu makulu ago era kiwemula. *Ekyekiro – Nnazzi kuno (edda) ng’omusajja Omuganda bw’ava ku mboozi y’ekyoto, nga yeefubitika ensiisiraye era ng’agamba mukazi we nti: owange, kati katulye Ekyekiro; amakulu nti “Let’s play sex”. Kale nno bwekatakutaandanga n’okikubawo mulujjudde nti: Bannange mujje tulye Ekyekiro, oba nti: Gundi yatusaanze tulya ekyekiro! Wano Omuganda omutuufu ayinza okufa ensonyi, naddala nga waliwo nnyazaala oba ssezaala!
|