Senga
Mouse member

Offline
Posts: 2
|
 |
« on: » |
|
MULIYO mutya baana bange? Mwebale kweraga mukwano. Njagala kwogera ku nsonga etambuza emirimu gy’omu kitanda. Ensonga eno y’eyoluyimba lw’eggwanga. Mmanyi bawalaba bange bangi musuuliridde oluyimba luno nga mulowooza hti terukyalina makulu. Ate n’abagezaako okulutwala mu maaso mukikola kutuusa mukolo. Ekivuddemu be batabani bange okubategeeza nga ‘sisiri’ bwe baamukoowa. Ggwe ssebo oyinza otya okuyimba oluyimba lwe lumu n’omalako omwaka n’okwata omulala?
Ekituufu kiri nti oluyimba luno luteekeddwa okukyuka okusinziira ku ngeri naawe gy’onyumirwamu kye muba mukola. Okugeza munno mugambeko nti ‘ATM card’ gy’alina yagiggya mu Girimaani era gye baamusomeseza okugikozesa,era n’esiigibwako ggaamu agisobozesa okusikayo obuswandi.
Kyusakyusaako mu lulimi oluyimbeko mu Lutooro, Olusoga oba Olunyarwanda. Kino tekikwetaagisa kusooka kuyiga lulimi lwonna, wabula osobola okuyigamu ebigambo by’omukwano.
Bw’aba akutuuse awakuwoomedde, tomulyazaamaanya mutegeeze akimanye. Amannya nago makulu, tomuyita Ssekatawa, waakiri musaleko omuyite.. Sseeka, ddiya, ddadi n’ebirala.
|